Mark 7:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Abafarisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti: “Abayigirizwa bo lwaki tebayisa mpisa z'abakadde, ne balya emmere n'engalo ezitali nnongoofu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne babuuza Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera mpisa za bajjajjaffe ez’edda? Kubanga balya nga tebanaabye mu ngalo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafalisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo obw'abakadde, naye ne balya emmere n'engalo embi? ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne babuuza Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe, naye ne balya ng'engalo zaabwe tezitukuziddwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafalisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti Kiki abayigirizwa bo ekibalobera okutambulira mu bulombolombo obw'abakadde, naye bamala galya emmere n'engalo embi?