Mark 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Yisaaya yalanga bulungi ku mmwe abakuusa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “ ‘Abantu bano bampa ekitiibwa kya ku mumwa bumwa; emitima gyabwe gindi wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti, “ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe tegindiiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, Naye emitima gyabwe gindi wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi eyaboogerako, bye yawandiika bituufu nti: ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe tegindiiko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, Naye emitima gyabwe gindi wala.