Mark 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abagamba nti: “Nga mugaana bulungi ekiragiro kya Katonda mukwate empisa yammwe!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nate nti: “Mukola bubi okugaana ekiragiro kya Katonda, mulyoke mukuume obulombolombo bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, era mukwate obulombolombo bwammwe.