Mark 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo, era ekibiina ekinene kyali kikuŋŋaanye ng'abantu tebalina kye balya; n'ayita abayigirizwa be w'ali n'abagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere n’ebaggwaako. Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu nnaku ezo, ekibiina ne bwe kyakuŋŋaana, ne bataba na mmere ya kulya, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu nnaku ezo, abantu ne bakuŋŋaana bangi nate. Bwe baali nga tebakyalina mmere, Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu nnaku ezo, ebibiina bwe byayinga obungi nate, ne bataba na mmere, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti