Mark 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafarisaayo ne bajja, ne basooka okumuwakanya; ne bamwagaza akabonero okuva mu ggulu nga bamukema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafalisaayo ne bajja gy’ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafalisaayo ne bajja gy'ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafarisaayo ne bagenda eri Yesu, ne batandika okuwakana naye, ne bamusaba nga bamukema, abawe akabonero akalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafalisaayo ne bafuluma ne bajja, ne batanula okumusokaasoka, nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.