Mark 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'assa ekikkowe ekiva ddala ku mutima, n'abagamba nti: “Ezzadde lino ekiryagaza akabonero kiki? Mazima mbagamba nti tewali kabonero kajja kuweebwa zzadde lino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’assa ekikkowe, n’abagamba nti, “Lwaki omulembe guno gunoonya akabonero? Ddala ddala mbagamba nti, Tewali kabonero kajja kuweebwa mulembe guno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'assa ekikkowe, n'agamba nti, “Ab'Emirembe gino banoonyeza ki akabonero? Mazima mbagamba nti, ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'assa ekikkowe, olw'okulumwa mu mwoyo gwe, n'agamba nti: “Abantu b'omulembe guno lwaki basaba akabonero? Mazima mbagamba nti ab'omulembe guno tewali kabonero kanaabaweebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asinda nnyo mu mwoyo gwe, n’agamba nti ab'Emirembe gino banooyeza ki akabonero? mazima mbagamba nti ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero.