Mark 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno baali beerabidde okuleeta emigaati; mu lyato baalinamu omugaati gumu gwokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa beerabira okutwala emigaati egiwera; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati. Wabula mu lyato baalinamu omugaati gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne beerabira okutwala emigaati, so tebaali nagyo mu lyato wabula omugaati gumu.