Mark 8:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ategeera, n'abagamba nti: “Lwaki mwebuuzaganya nti temulina migaati? Temunnaba kumanya na kutegeera? Omutima gwammwe gukyagugubye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yakimanya n’abagamba nti, “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? Era temunnategeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yategeera n'abagamba nti, “Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? Temunnalaba, so temutegeera? Emitima gyammwe mikakanyavu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? N'okutuusa kati temunnaba kwetegereza na kutegeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? temunnalaba, so temutegeera? emitima gyammwe mikakayavu?