Mark 8:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale emigaati etaano bwe nagimenyera abantu enkumi ettaano mwaggyawo ebisero bimeka ebijjudde obutundutundu?” Ne bamugamba nti: “Kkumi na bibiri”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwerabidde emigaati etaano gye namenyamenyamu okuliisa abantu enkumi ettaano? Ebisero byali bimeka eby’obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya?” Ne baddamu nti, “Kkumi na bibiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnamenyera enkumi ettaano (5,000) emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bwe mwakuŋŋaanya?” Ne bamugamba nti, “Kkumi na bibiri (12).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nagabira abantu enkumi ettaano emigaati etaano, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Kkumi na bibiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnameyera enkumi ettaano emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya? Ne bamugamba nti Kkumi na bibiri.