Mark 8:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekibiina kino kinkwasa ekisa, kubanga babadde nange kati ennaku ssatu, ate nga tebalina kye balya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nsaasira ekibiina, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, era tebalina kya kulya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nsaasira ebibiina, kubanga leero ennaku ssatu nga bali nange, so tebalina mmere;