Mark 8:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abagamba nti: “Ate emigaati omusanvu, bwe nagimenyera abantu enkumi ennya, mwaggyawo ebibbo bimeka eby'obutundutundu?” Ne bamugamba nti: “Musanvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ababuuza nti, “Ate abantu bwe baali enkumi ennya n’emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bwe baalemwa bimeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya (4,000), mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka?” Ne bamugamba nti, “Musanvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ate bwe nagabira abantu enkumi ennya emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Ebibbo musanvu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya, mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka? Ne bamugamba nti Musanvu.