Mark 8:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bajja e Betisayida; ne bamuleetera muzibe, ne bamwegayirira amukwateko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso, ne bamwegayirira amukwateko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bajja e Besusayida. Ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira amukwateko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be, ne batuuka e Betusayida. Abantu abamu ne baleeta muzibe awali Yesu, ne bamwegayirira amukwateko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja ne batuuka mu Besusayida ne bamuleetera omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira okumukomako.