Mark 8:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akwata muzibe ku mukono, n'amuggya mu kyalo, n'amufujjira amalusu ku maaso, n'amussaako emikono, n'amubuuza nti: “Oliko ky'osobola okulaba?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’akwata omuzibe w’amaaso ku mukono n’amufulumya ebweru w’akabuga ako. N’awanda amalusu ku maaso g’omusajja n’agakwatako, n’amubuuza nti, “Kaakano waliwo ky’olaba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru we kibuga. Awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti, “Oliko ky'olaba?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'akwata muzibe ku mukono, n'amuggya mu kabuga ako. Bwe yamala okufujja amalusu ku maaso ga muzibe, n'okugakwatako, n'amubuuza nti: “Oliko ky'olaba?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru w'embuga; awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti Oliko ky'olaba?