Mark 8:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'avaayo n'abayigirizwa be, n'alaga mu byalo eby'e Kayisariya-Filippo; mu kkubo n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bagamba nze ani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abayigirizwa be, ne bagenda mu bubuga obw’e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, Yesu n’ababuuza nti, “Abantu bampita ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu bampita ani?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'omu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo. Bwe baali nga batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba banjogerako, bampita ani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu mbuga z'e Kayisaliya ekya Firipo. Bwe baatuuka mu kkubo n'abuuza abayigirizwa be, n'abagamba nti Abantu bampita ani?