Mark 8:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamuddamu nti: “Bagamba nti Yowanna Batista, abalala nti Eliya, ate abandi nti omu ku balanzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala Eriya, naye abalala nti omu ku bannabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba nti, “Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamutegeeza nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza. Abalala bagamba nti ggwe Eliya, ate abalala nti oli omu ku balanzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi.