Mark 8:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'asooka okubayigiriza ng'Omwana w'Omuntu bw'alina okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuzuukira nga wayiseewo ennaku ssatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’atandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana w’Omuntu okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, n’oluvannyuma lw’ennaku ssatu okuzuukira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'atandika okubabuulira nti, kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'atandika okubayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka. Era alittibwa, naye nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atanula okubayigiriza nti kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira.