Mark 8:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ekyo n'akyogerera ddala kyere. Petero n'amuddira, n'atandika okumukomako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera nabo ku nsonga zino zonna mu lwatu, Peetero kyeyava amuzza wabbali n’atandika okumunenya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amuzza wabbali n'atandika okumunneya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino yabyogera mu lwatu. Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amutwala, n'atanula okumunneya.