Mark 8:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye n'akyuka, bwe yalaba abayigirizwa be, n'akabukira Petero, n'agamba nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Kubanga by'olowooza si bya Katonda, wabula bya bantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’akyuka n’atunuulira abayigirizwa be, n’alyoka anenya Peetero nti, “Setaani dda ennyuma wange, kubanga tolowooza ku bya Katonda wabula olowooza ku by’abantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yakyuka n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti, “Dda emabega wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba abayigirizwa be abalala, n'akangukira Peetero nti: “Nva mu maaso, oli Sitaani! Ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'akyuka, n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti Dda ennyuma wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.