Mark 8:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ayita gy'ali ekibiina wamu n'abayigirizwa be n'abagamba nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe, angoberere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayita ekibiina wamu n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, n'abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yetikka omusaalaba gwe, n'angoberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.