Mark 8:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi mu zzadde lino esseegu era eryonoonyi, oyo Omwana w'Omuntu naye alimukwatirwa ensonyi lw'alijja mu kitiibwa kya Kitaawe wamu ne bamalayika abatuukirivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, n’ebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana w’Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi mu bantu b'omulembe guno abava ku Katonda era ababi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika abatuukirivu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.