Mark 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alagira abantu okukkalira wansi; n'akwata emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'agimenyamu, n'akwasa abayigirizwa be; ne bagabira ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’alagira abantu batuule wansi. N’addira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n’agimenyaamenyamu, n’agiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'alagira ekibiina okutuula wansi. N'addira emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'agimenyaamenyaamu, n'awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'alagira abantu batuule wansi. N'atoola emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n'agimenyaamenyamu, n'agikwasa abayigirizwa be bagigabire abantu. Ne bagibagabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alagira ebibiina okutuula wansi: n'addira emigaati omuanvu, ne yeebaza, n'amenyamu, n’awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina.