Mark 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali balina n'obwennyanja butono, n'abuwa omukisa, nabwo n'alagira okubugaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era baalina wo n’ebyennyanja bitono, nabyo Yesu n’abiwa omukisa n’agamba abayigirizwa be babigabule abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baali balina obw'ennyanja butono, nabwo n'abwebaza, n'alagira n'abwo okubussa mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baalinawo n'obwennyanja mpa we buzira. Bwe yamala okwebaza Katonda, nabwo n'alagira babubagabire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baali balina obw'ennyanja butono: n'abwebaza, n’alagira n'obwo okubussa mu maaso gaabwe.