Mark 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ne bakyekuumira bokka, naye nga beebuuza 'kiki ng'amaze okuzuukira mu bafu' kye kitegeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti, “Okuzuukira mu bafu kuliba kutya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nabo ne bagondera ky'abagambye, wabula ne beebuuzaganya nti: “Ategeezezza ki bw'ayogedde ku kuzuukira?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti Okuzuukira mu bafu kuliba kutya?