Mark 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayanukula nti: “Kituufu Eliya ajja, atereeze byonna; ate kyawandiikibwa kitya ku Mwana w'Omuntu nti: ‘Wa kulaba ennaku nnyingi n'okujolongebwa’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya ye ateekwa okusooka okujja atereeze byonna. Wabula, lwaki kyawandiikibwa nti Omwana w'Omuntu ateekwa okubonyaabonyezebwa ennyo, era n'okunyoomebwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa?