Mark 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze mbagamba nti Eliya yajja, wabula ne bamukola kyonna kye baagala nga bwe kyali kimuwandiikiddwako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, era abantu baamukolako byonna bye baayagala, ng'ebyawandiikibwa bwe byamwogerako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa.