Mark 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka awali abayigirizwa be, n'alaba ekibiina kinene ekibeebunguludde, n'abawandiisi nga bawakana nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be abasatu, bwe baava ku lusozi, ne basanga ekibiina ky'abantu kinene, nga kyetoolodde abayigirizwa be abalala, era ng'abannyonnyozi b'amateeka bawakana nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka.