Mark 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu okuva mu kibiina n'ayanukula nti: “Muyigiriza, nkuleetedde mutabani wange aliko omwoyo gukasiru,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu mu kibiina n'amuddamu nti, “Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bantu abangi abaaliwo, n'amuddamu nti: “Muyigiriza, nakuleetedde mutabani wange, aliko omwoyo omubi ogumugaana okwogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu mu kibiina n'amuddamu nti Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera;