Mark 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
buli lwe gumukwata, gumukuba ebigwo, n'abimba ejjovu, n'aluma amannyo, n'alambaala. Nasaba abayigirizwa bo bagugobe, ne batayinza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: ŋŋambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lwe gumukwata, gumukuba ebigwo, n'abimba ejjovu, n'aluma amannyo, era n'alambaala. Nasabye abayigirizwa bo okugumugobako ne balemwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: ŋŋambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza.