Mark 9:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ennaku mukaaga, Yezu n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna, n'abambusa ku lusozi oluwanvu ku bbali bokka, n'afuuka mu maaso gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, ne Yakobo, ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu. Awo endabika ye n'efuuka nga balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe.