Mark 9:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba, amangu ago ne gumusikaasikanya, n'agwa ku ttaka, ne yeeziribanga, n'abimba ejjovu mu kamwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangwago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bamumuleetera. Omwoyo omubi bwe gwalaba Yesu, amangwago ne gujugumiza omulenzi, n'agwa wansi, ne yeevulungula, nga bw'abimba ejjovu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangu ago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu.