Mark 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'abuuza kitaawe nti: “Yaakamala bbanga ki nga kino kimujjira?” Ye n'agamba nti: “Okuva mu buto;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abuuza kitaawe nti, “ Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki?” N'agamba nti, “ Okuviira ddala mu buto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abuuza kitaawe w'omulenzi nti: “Amaze bbanga ki ng'akwatiddwa omwoyo guno omubi?” Ye n'addamu nti: “Okuviira ddala mu buto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abuuza kitaawe nti Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki? N'agamba nti Bwa mu buto.