Mark 9:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate gumusuula lunye mu muliro ne mu mazzi, gumuzikirize. Naye obanga olina ky'oyinza okukola, tusaasire, otuyambe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era emirundi mingi gumusuula mu muliro, oba mu mazzi, gumutte. Naye tukwatirwe ekisa, otuyambe, singa osobola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere.