Mark 9:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago kitaawe w'omwana n'agamba nti: “Nzikiriza, yamba obutakkiriza bwange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti, “ Nzikirizza saasira obutakkiriza bwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago, kitaawe w'omulenzi n'addamu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Nzikiriza, wabula nnyamba ssebo okukkiriza kwange kuggweemu okubuusabuusa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Nzikirizza: saasira obutakkiriza bwange.