Mark 9:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yalaba ekibiina nga kikuŋŋaana, n'akabukira omwoyo omubi nti: “Mwoyo ggwe omuggavu gw'amatu, ogutayogera, nze nkulagira, mumaamukeko, ate togezanga kumuddamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kijja kidduka, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti, “ Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiranga nate n'akatono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yalaba abantu abalala bangi nga nabo bajja badduka, n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Mwoyo ggwe omubi ogutayogera, era ogwaziba amatu, nkulagira nti omulenzi muveeko, era tomuddangako nate.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kikuŋŋaana mbiro, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiranga nate n'akatono.