Mark 9:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaddamu nti: “Engeri eno tegobeka, wabula na kwegayirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Engeri eno teyinzika kugenda nakirala awatali kusaba na kusiiba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'abaddamu nti: “Tewali kirala kye muyinza kugobesa mwoyo mubi gwa ngeri eno ku muntu, okuggyako okusaba Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Engeri eno teyinzika kuvaako lwa kigambo wabula olw'okusaba.