Mark 9:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa be, ng'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; bw'alimala okuttibwa, nga wayise ennaku ssatu alizuukira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa be nga abagamba nti, “ Omwana w'omuntu aliweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga yali n'abayigirizwa be ng'abayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu, era bajja kumutta, wabula nga bamaze okumutta, waliyitawo ennaku ssatu n'azuukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yayigiriza abayigirizwa be n'abagamba nti Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira.