Mark 9:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batuuka e Kafarunawumu. Bwe yali mu nnyumba, n'ababuuza nti: “Mu kkubo mubadde mwogera ku ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti, “Mubadde muwakana ki mu kkubo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka e Kafarunawumu. Bwe baamala okuyingira mu nnyumba, Yesu n'ababuuza nti: “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti Mubadde muwakana ki mu kkubo?