Mark 9:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne basirika, kubanga mu kkubo baali bawakana bokka na bokka ku ani asinga obukulu mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti, “ani omukulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo ne basirika, kubanga mu kkubo baali bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti ani omukulu.