Mark 9:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atuula, n'ayita Ekkumi n'Ababiri, n'abagamba nti: “Buli ayagala okubeera omubereberye, abeere muvannyuma mu bonna, era muweereza wa bonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'atuula n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli ayagala okuba ow'olubereberye, ateekwa okuba asembayo mu bonna, era ateekwa okuba omuweereza wa bonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna.