Mark 9:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yowanna n'amugamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi mu linnya lyo, ne tumuziyiza, kubanga yali tayita naffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yokaana n'amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo ne tumugaana, kubanga yali tayita naffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowanne n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tugezaako okumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yokaana n'amugamba nti Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo; ne tumugaana, kubanga teyayita naffe.