Mark 9:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'agamba nti: “Muleke kumuziyiza; kubanga tewali akola kikolwa kya maanyi mu linnya lyange ate ayinza amangu ago okunjogerako obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'agamba nti, “ temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangwago n'anvuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Temumuziyiza, kubanga buli akola ebyamagero ng'akozesa erinnya lyange, tasobola, nga waakayitawo akaseera katono, okunjogerako obubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'agamba nti Temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangu ago n'anvuma.