Mark 9:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Buli alibawa ekikopo ky'amazzi olw'erinnya nti muli ba Kristu, mazima ka mbabuulire, talibulwa mpeera ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti buli abawa mmwe eggiraasi y'amazzi okunywa, kubanga muli ba Kristo, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.