Mark 9:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko; waakiri oyingire mu bulamu ng'oli wa kikuggu, n'otosuulibwa mu Geyenna ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa omukono gwo gukukozesa ekibi, gutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli wa mukono gumu, okusinga lw'osigaza emikono gyombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira;