Mark 9:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; waakiri oyingire mu bulamu obutaggwaawo ng'oli mulema n'otogenda mu Geyenna ng'olina ebigere byombi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okugulu kwo bwe kukwesittazanga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba singa okugulu kwo kukukozesa ekibi, kutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli mulema, okusinga lw'osigaza amagulu gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okugulu kwo bwe kukwesittazanga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi;