Mark 9:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era obanga eriiso lyo likwesittaza, linokolemu; waakiri oyingire mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Geyenna ng'olina amaaso gombi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oba singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu. Kirungi oyingire Obwakabaka bwa Katonda ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi;