Mark 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekire ne kijja kibabuutikira; eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, mumuwulirenga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekire ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, era eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, mumuwulirize.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.