Matthew 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amazadde bwe gatyo: okuva ku Yiburayimu okutuuka ku Dawudi, gaali kkumi n'ana, okuva ku Dawudi okutuusa ku kutwalibwa mu busibe mu Babiloni gaali kkumi n'ana, ate okuva ku busibe mu Babiloni okutuuka ku Kristu, nago amazadde gaali kkumi n'ana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe gityo emirembe gyonna, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena (14), nate okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babbulooni, emirembe kkumi n'ena (14), nate okuva ku kutwalibwa e Babbulooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena (14).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno emirembe gyonna, okuva ku Aburahamu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, emirembe kkumi n'ena; ate okuva ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe gityo emirembe gyonna, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babulooni, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku kutwalibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena.