Matthew 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuzaalibwa kwa Yezu Kristu kwali bwe kuti: Mariya nnyina ng'amaze okwogerezebwa Yozefu, nga tebannaba kubeera wamu, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti; Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Mariya nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yosefu, nga tebannafumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu.