Matthew 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yozefu bba, kubanga yali mutuukirivu era nga tayagala kumuswaza, n'ateesa okumugoba mu kyama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, n'alowooza okumulekayo mu kyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu bba, kubanga yali muntu mulungi, n'atayagala kumuswaza, n'alowooza okumulekayo mu kyama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, yali alowooza okumulekayo kyama.