Matthew 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyalowoolereza ekyo, malayika w'Omukama n'amulabikira mu kirooto, n'amugamba nti: “Yozefu, mutabani wa Dawudi, totya kuyingiza mumwo Mariya mukazi wo, kubanga olubuto lw'alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba bwe yali alowooza bw'atyo, malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti, “Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali akyalowooza ebyo, malayika wa Mukama n'amulabikira mu kirooto, n'amugamba nti: “Yosefu, muzzukulu wa Dawudi, leka kutya kutwala Mariya mukazi wo, kubanga ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba bwe yali alowooza bw'atyo, malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu.